ADRIAN ABRAHAM LUBYAYI
@AdrianLubyayi_1
Spokesperson Of Buganda Youth Council. Chairperson Baganda Nkobazambogo National Executive Committee.(NEC)
Bulijjo twenyumirize nnyo nnyini mu buwangwa bwaffe naddala nga twogera ennimi zaffe ennansi. #TuddeKuNnono #Nkobazambogo
🚨| Walking into the weekend knowing that “abantu bonna tubagala naye tuli Baganda, teri ebyo byakututeeka wamu nga amagi”
Kitalo Nnyo Nnyini 😭🙏 Tufiiriddwa munnankobazambogo munnaffe Ssemuyaba Robert abadde omukubiriza w'akaliba akendo mu saza Singo. @Bagandatweepsss @BugandaYiyo @Mwembugaoficial @cbsfm_ug @BucadefUg @cpmayiga

Katikkiro @cpmayiga atongozza olukiiko lw'eddiiro lya Kisekwa olutawulula enkaayana mu bika by'Abaganda. Olukiiko luno lukulirwa Omuk. Dr. Ssonko Robert Kanaakuloopa, luliko abakiise abalala mukaaga. Kamalabyonna awabudde abantu ba Kabaka okweyuna embuga eno ku nsonga zonna…
#MatikkiraAt32 | Ekikolwa ky’okusitula Omutanda nga bamutikkira kiyitibwa kitya? #32KuNnamulondo
Olugero: Emmwanyi gye weesiga, tebaamu mulamwa. Amakulu: Abantu abalabika obulungi era aboogera obulungi oluusi kyebalabika ate ssi kyebali. Osaana okwegendereza abantu, bangi ssi balungi era tebategeeza byeboogera. #EngerozAbaganda
Katikkiro @cpmayiga atonedde @McWaleWale ekitabo "Work and Prosper" n'amukuutira okukisoma awawule okumanya kwe. #CBSFmUpdates
Kkooti enkulu eya Uganda eyimirizza mbagirawo ebiragiro bya Minisita Sam ku ttaka lya Kabaka ery'e Kaazi. Minisita ow'Ettaka n'Ebizimbe mu Buganda Owek. Daudi Mpanga atangaazizza ensala ya kkooti eri Bannamawulire Obwakabaka bulabudde abo bonna abakyalowooza okutambulira ku…
Katikkiro @cpmayiga agamba bannabyabufuzi abataagala Bwakabaka balabika era abantu basaanye babeewale mu kalulu kano ketugendamu, #AmaasoKuGgwanga #KatikkiroMayigaAt12
In 1993, His Majesty Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II stood as the cornerstone in the historic restoration of cultural leadership and sovereignty in Uganda. #Amatikkira32 #KabakaMutebiII
"Tukikola kagenderere okusomesa emiti emito obuwangwa bwabwe, okubayigiriza obukulembeze n'okubasigamu empisa ez'obuntubulamu, kubanga ebiseera by'eggwanga lyaffe ebyomumaaso biri mikono gy'abwe", Ssentebe Adrian Lubyayi ku St Charles Lwanga Int Sch e Kakiri. @Bagandatweepsss



Omwogezi w'abavubuka mu Buganda era Ssentebe wa Nkobazambogo mu ggwanga Omuk. Adrian Lubyayi alambudde ku bayizi ba St Charles Lwanga International School e Kakiri, essomero lino liri munteekateeka okuggulawo ekibiina kya Nkobazambogo. @Bagandatweepsss @BugandaYiyo @BugandaYouthC



"Kabaka tafuna musaala, n'ensimbi z'emmotoka ezoogerwako Obwakabaka tebuzifunangako" Owek @KazibweIsrael -Minisita w’Amawulire mu @BugandaKingdom_ #cbsfmupdates
Olukiiko olukulembera abavubuka bonna mu Buganda tuyozaayoza Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe olw'okutuuka ku lunaku lw'amazaalibwa ge. Tusaba Omukama amwongere obulamu n'amagezi okutembeeta obulungi ekitongole kya Kabaka ekya CBS. @Bagandatweepsss @cbsfm_ug
Omwogezi w'abavubuka mu Buganda era Ssentebe wa Nkobazambogo mu ggwanga Adrian Lubyayi ku kulonda kwa Abavubuka ku byalo. #BYC2025 @Bagandatweepsss @cpmayiga @robert_serwanga @buganda @cbsfm_ug @BugandaYiyo @bbstvug
Olunaku lw'enkya ku ssaawa 2 ez'ekiro mu pulogulaamu #AmaasoKuGgwanga Katikkiro Charles Peter Mayiga agenda kutulombojjera olugendo olw'emyaka e 12 nga akutte Ddamula ssaako okukuba ttooci ku bigenda mu maaso mu ggwanga n'omukubiriza Steven Danstun Busuulwa. Tosubwa.
Celebrating #WorldYouthSkillsDay, a delegation from @BugandaKingdom, led by the Minister of Youth & Sports @robert_serwanga, @BugandaYouthC leadership visited @MakUnipod, MIIC and AI laboratory @Makerere where youth innovation ideas are supported.
Okweteekateeka kikulu nnyo mu mirimu gye tukola bwe tuba twagala okugiggusa obulungi. Nzigguddewo olusirika lw'abalambika abagenyi mu Bwakabaka (Protocol Team). Mbakubirizza okunyweza ennono y'ebifo mwe abakolera, okubeera abamanyi ku nsonga za Buganda zonna, okufaayo ku ndabika…
Owekitiibwa Sserwanga Robert olwaleero addamu okulambula abavubuka abakola emirimu gy'ekikugu nga wakutandikira ku Refactory Academy e Muyenga ku ssaawa '9:00am-11:00am’ oluvanyuma Minister wakusembera ku Innovation Village e Bugoloobi ku ssaawa '12:00 noon' @robert_serwanga @cbs
This morning we hosted a delegation from the @BugandaKingdom_ led by Owek. Robert Serwanga, Minister for Youth, Sports & Arts. Discussions focused on how @MakUnipod can extend innovation & skilling opportunities to the youth of Buganda & beyond. #Buganda | #YouthEmpowerment