Charles Peter Mayiga
@cpmayiga
Katikkiro (Prime Minister) of the Kingdom of Buganda (@BugandaKingdom_). Personal posts end with CPM.
Ggwe lima emmwanyi osirike! Mwebale nnyo Bannakyaggwe. #EmmwanyiTerimba




Okugoba obwavu tulina kunyiikira kukola, era #EmmwanyiTerimba ly'erimu ku makubo ge tusobola okuyitamu okwegobako obwavu. E Kyaggwe nsanyuse okulaba ng'abantu bongedde okunyiikira okulima emmwanyi, kati tubakubiriza okukozesa omukisa gw'ebibuga ebibeetoolodde okubifunamu akatale…




#EmmwanyiTerimba Leero nkedde mu Ssaza Kyaggwe okulambula abalimi b'emmwanyi wamu naabo abakola emirimu emirala egitambulira ku kirime ky'emmwanyi.




MC Wale Wale owa 89.2 CBS FM andeetedde bannabitone; Wajja Victor (Victor Ruz), Shena Skies Namagembe, Mugerwa Joseph Zamba, ne Dj Stevo Mbawadde amagezi bawe obudde ebitone byabwe (okuyimba, okuwandiika ennyimba, obwa maneja) bakole nnyo ate babeere bagumiikiriza bajja…




Faith alone cannot bring about prosperity, Plain and simple. My advice is that one keeps one's faith but goes about life in a rational manner. If the (business) idea is wrong or misplaced; if you waste what you earn on non-essentials; if you're not efficient, there's no amount…


Okuva ku Mulembe gwa Kabaka Kintu, Ebika byafuuka erimu ku masiga asatu Buganda kw'etudde. Ebika y'entabiro etugatta (oluganda olw'awamu) ku Ssaabataka, Kabaka omutwe gw'Abataka Abakulu b'Obusolya. Essiga erisooka lye ly'Olulyo lw'Abalangira n'Abambejja (wewaawo nakyo Kika…


Abantu bangi batandika kkampuni kyokka ne zibalema okuwanirira, kyenva njozaayoza Verona High School okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky'Ebyenjigiriza. Nneebaza n'abaddukanya essomero lino okubbula mu kizimbe erinnya lyange. Ebyenjigiriza gwe munnyo gw'ensi era nneebaza abazadde…




#AMAASOKUGGWANGA | Olugendo lwa Katikiro @cpmayiga olw’emyaka 12 n’ebigenda mu maaso mu Ggwanga
Okweteekateeka kikulu nnyo mu mirimu gye tukola bwe tuba twagala okugiggusa obulungi. Nzigguddewo olusirika lw'abalambika abagenyi mu Bwakabaka (Protocol Team). Mbakubirizza okunyweza ennono y'ebifo mwe abakolera, okubeera abamanyi ku nsonga za Buganda zonna, okufaayo ku ndabika…




Emyaka 32 egya Kabaka Mutebi II ku Nnamulondo, enkola ya CBS PEWOSA y'emu ku nteekateeka ze twenyumirizaamu ennyo olw'ebibala ffenna byetulabako. Ekizimbe Meeru amaka ga Buddu CBS PEWOSA kati, kisobose okuzimbibwa; olw'obuyiiya, obunyiikivu, okukola n'okwagala n'obwerufu…



