Buganda Kingdom
@BugandaKingdom_
This is the Official Account of the Kingdom of Buganda.
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Olukiiko lw'Embuga ya Kisekwa lwa bantu 7 nga bakulemberwa Omuk. Dr. Robert Ssonko. Katikkiro bano abasabye okukulembeza obwenkanya nga basala emisango gyonna, kyokka era abeebazizza olw'okuwaayo obudde okukola obuvunanyizibwa obukulu nga…




Obwakabaka buzzeemu okujjukiza gavumenti okuwa Uganda enfuga eya federo nga kino kijja kugiyambako okwetoolako obuvunanyizibwa obungi bwerina, nga buli kitundu kyekolera ku nsonga zaakyo. Bino bibadde mu bubaka Katikkiro bw'atisse Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph…




Mmwanyi terimba, lutalo lwa kugoba bwavu. #mmwanyiterimba2025

Mu kaweefube w'okutumbula obutondebwensi, leero Owek. Noah Kiyimba ne Owek. Mariam Mayanja Nkalubo basisinkanye Hon. Ruth Nankabirwa Minisita w'Ebyobugagga obwensibo n'amasanyalaze. Boogedde ku butya bwe bongera okukubiriza abantu okwettanira okufumbisa amasanyalaze bakomye…

Kamalabyonna alambudde amaka ga Hajji Yawe Ramathan e Makukuba mu lugendo lwaliko olw'okulambula abalimi b'emmwanyi e Kyaggwe. Katikkiro asinzidde mu maka ga Yawe Aramanthan kati omugenzi, batabani be abaasalawo obutatunda ttaka lya bazadde baabwe wabula nebalyongerako omutindo…




Katikkiro atongozza enteekateeka y'okugaba emizinga gy'enjuki giyambeko okuwakisa emmwanyi. Asinzidde ku kyalo Ddiikwe ne Makukuba n'akwasa abalimi mu bitundu emizinga gino. Mu buufu bwe bumu alangiridde kaweefube w'okusimba emiti emituba mu nnimiro giyambeko ku kisiikirize,…


Mu kwogera kwe e Ddiikwe mu nnimiro ya Kimuli, Katikkiro yebazizza omulimi ono olw'obunyiikivu, era n'asaba banna kyaggwe okutwala ekifaananyi ekyo era agamba nti nga baagala okugoba obwavu balina kukola era nga emmwanyi lye kkubo erisoboka. Asabye banna kyaggwe okukozesa…



Mmwanyi terimba Kyaggwe. Katikkiro Charles Peter Mayiga atandise okulambula abalimi b'emmwanyi mu Ssaza Kyaggwe okunnyikiza kaweefube w'okulima emmwanyi okusobola okugoba obwavu. Kaweefube amutandikidde mu ggombolola ya mumyuka Nakifuma ku kyalo Ddiikwe ew'omulimi Kimuli Eddy…




Okuva ku Mulembe gwa Kabaka Kintu, Ebika byafuuka erimu ku masiga asatu Buganda kw'etudde. Ebika y'entabiro etugatta (oluganda olw'awamu) ku Ssaabataka, Kabaka omutwe gw'Abataka Abakulu b'Obusolya. Essiga erisooka lye ly'Olulyo lw'Abalangira n'Abambejja (wewaawo nakyo Kika…
Abazadde mutuume Abaana amannya g'Ebika si g'abasambi ba mupiira. "Ennaku zino ogenda n'owulira omuzadde nga atuumye omwana we erinnya ly'omusambi w'omupiira mu Nsi z'abazungu ne wewewunya ekiddirira singa omuzannyo oyo awummula omupiira". Bino byogeddwa Minisita w'Amawulire…




Ku lw'Obwakabaka, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yeetabye ku mukolo gwa mutabani wa Gen. Katumba Wamala ku St. Andrew's Church e Bukoto. Julius Wamala ne Leah Mwesigwa bagatiddwa empeta era bano Owek. Nsibirwa abayozaayozezza olw'okusalawo okutandika obufumbo. Ababiri bano…



Omulangira Kassim Nakibinge asabye Gavumenti okukola enguudo naddala mu byalo okusobola okumbula enkulaakulana. Omulangira Nakibinge asinzidde Mende ku bijajuzo eby'emyaka 40 egy'essomero li Mende Kalema Memorial SSS. Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase…




Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obukubagiza ab'Enju y'omugenzi Prof. George William Kanyeihamba Obubaka bwa Beene bwetikkiddwa Omusukkulumu Omulangira Rev. Daniel Kimbugwe Kajumba, abukwasizza eri mulekwa Joel Martin Kanyeihamba bw'abadde y'akatuuka ku kisaawe Entebbe.…




Obwakabaka bufulumizza ebigezo byokugezesa abayizi mu kibiina ky'Omusanvu, eky'Okuna n'ekyomukaaga Ebigezo bino bitegekebwa ekitongole ky'obwakabaka eky'ebigezo ki Buganda Examinations Council, wansi wa Minisitule yeby'enjigiriza mu bwakabaka. Nga akwasa abakulu b'amasomero…




Kkooti enkulu eya Uganda eyimirizza mbagirawo ebiragiro bya Minisita Sam ku ttaka lya Kabaka ery'e Kaazi. Minisita ow'Ettaka n'Ebizimbe mu Buganda Owek. Daudi Mpanga atangaazizza ensala ya kkooti eri Bannamawulire Obwakabaka bulabudde abo bonna abakyalowooza okutambulira ku…



Katikkiro ajjukizza abazadde obuvunaanyizibwa bwabwe eri abaana Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga agguddewo ekizimbe ekibuddwa mu linnya lye ku ssomero ki Verona High School e Mutundwe Kisigula. Katikkiro Mayiga asinzidde eno n'ajjukiza abazadde ennyingo enkulu 5…



